Language

OLUNAKU LW’EBIROGOLOGO 2016: TEWEETEREBUKAMU!

Omulundi ogw’okusatu ogw’olunaku lw’ebirogologo Nate lwakubaawo nga lumu, mukulukusabitungotungo (01/10/2016). Olunaku lw’ebirogologo olw’omwaka guno lutunuulidde kimu “Teweeterebukamu.”

http://urticariaday.org/uct/face-upload/

Mu balwadde bangi, kitwala emyezi oba emyaka okusobola okuzuula obulwadde oba okufuna obujanjabi obutufu. Olunaku luno lugenderera okuzzaamu abalwadde b’ekilogologo essuubi/amaanyi mu kaseera kano akazibu obuteeterebukamu n’okuddamu okufuga obulamu bwabwe nga bayambibwako balwadde bannaabwe n’abasawo.

Ku ky’okuzzaamu abalala amaanyi! Wandiika engeri gyewasobola obuteeterebukamu, newankubadde okusoomoozebwa wekuli era ogabane n’obumanyirivu bwo/by’oyiseemu n’abalwadde bonna ku lunaku lw’ekirogologo luno. Tegeeza abalala wafuna otya okuyambibwa era wa obuyambi nabo basobole okukolwako ng’ekiwundu tekinnasamba ddagaka era nga tebanneecaawa.

Mu ngeri y’emu, olunaku luno mukisa munene okuyimusa okumanyisa ensonga y’ebirogologo eri abalwadde, amaka gaabwe, abasawo ab’eby’obufuzi, n’emikutu gy’empuliziganya n’ensi yonna. Twagala n’okwongeza emikisa gy’okusomesa abasawo baffe nabo bwebatyo basobole okufaayo okusingawo ku balwadde ate Nabalwadde bebirogologo basobole okweyagalira mu bulamu obulungi.

Ffe “baani”? “Yeffe”Ffenna! Abalwadde, abasawo, ebitongole, Nze naawe. Buli eyeetaba mu lunaku lw’ebirogologo 2016, kitundu eky’okuyungagana kw’ebirogologo.

Weetaga akafaananyiko n’ebiguddewo okukakassa ky’otaddemu ku lunaku lw’ebirogologo 2016 n’obuwanguzi bw’alwo.

Olunaku luwagiddwa GA²LEN era ne ba Unev, Abalwnirizi bekirwadde kye’birogologo (the urticaria network e.V.), ne ba daab e.V.  n’ebitongole ebirala bingi mu nsi yonna ebirwanirira okutumbula embeera n’obujjanjabi abalwadde abalina ekyoka n’ebirogologo.

Urticaria Day website user guide

Download

info